Abamu ku babaka ba parliament batuula bufoofofo nga bagamba nga bagamba nti waliwo abajaasi ba UPDF abatandise okulamuza ebifo by’obubaka bwa parliament ababaka abo byebalimu.
Ababaka bano nga batuula ku kakiiko ka parliament akalondoola eddembe ly’obuntu, basinzidde mu nsisiinkano y’akakiiko n’abakulu mu ministry y’ebyokwerinda abakulembeddwamu minister w’ebyokwerinda Vincent Bamulangaki Ssempijja nebamuttotolera ensonga zabwe.
Julius Tom Ekudo omubaka wa Gweri agambye nti government bwetaggye maggye mu kalulu k’okulonda ,eggwanga lino bagenda kulisuulamu kinnya ekiwanvu ddala.
Omubaka Ono awadde ekyokulabirako nti mu kulonda okubindabinda e Dokolo eky’okulonda omubaka omukyala, amaggye geesomye dda era gali mu kweteekateeka okwenyigira mu kulonda okwo kyagambye nti kikyamu nnyo
Ababaka abalala bagamba nti bannamagye abakyaali mu buweereza bwamagye bangi abagala okwesimbawo era baatandiika dda okulamuza ebifo by’obubaka bwa parliament newankubadde ekiseera ky’akalulu tekitukanga.
Bawanjagidde minister w’ebyokwerinda alagire amagye gakome ku bajaasi abo, kubanga bababuzizaako obwekyuusizo.’
Minister Ssempijja abasuubizza nti ensonga eno amagye ne ministry yebyokwerinda egenda kugikutunulamu