Ababaka ba parliament abava mu bitundu bya Buganda okuyita mu kabondo kabwe akabagatta aka Buganda Parliamentary Caucus bataddewo akakiiko akenjawulo akagenda okubanja government obwenkanya, nga bagambaa nti Buganda erekeddwa nnyo emabega ng’ate yeesasula omusolo kumpi ogusinga obungi.
Mu lukuηaana lwa bannamawulire lwebatuuzizza ku parliament leero nga 21 March,2025, nga bakulembeddwamu Ssentebe wa Kabondo kano era omubaka wa Butambala Muhammed Muwanga Kivumbi balaze obwennyamivu ku ngeri ebitundu bya Buganda ebyenjawulo gyebirekeddwamu emabega mu bintu omuli enguudo, ebyenjigiriza, eby’obulamu kko nebirala.
Bagamba bagala government okusoosowaza Buganda bweneeba eteekateeka embalirira y’omwaka gwebyensimbi ogujja 2025/2026.
Akakiiko kano kaakukulemberwa omubaka wa Buikwe south Dr Lulume Bayiga.
Kivumbi agamba akakiiko kano katekeddwako abakiise okuva mu bitundu ebyetoloola Buganda nga mukino bataddewo ensisinkano nga ennaku zomwezi 4 omwezi ogujja ogwa April, bakube tooki mwebyo ebinaaba bikuηaanyiziddwa.
Mungeri yeemu Ababaka abava mu Buganda baagaalizza era nebayozaayoza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, okutuuka ku mazaalibwage age myaka 70, bwebatyo nebakoowoola bannayuganda okwetaba mu misinde gya mazaalibwa ga kabaka egigenda okubaawo ngA 06 April,2025.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka