Ababbi balumbye omusiri gwa kasooli nebamuwulula nga bwebamutikka ku mmotoka, ku kyalo Lukesse mu muluka gwe Mifunya mu distrity ye Nakaseke.
Abatuuze bagwikirizza ababbi 4 nga bakyawulula, nebabaziinduukiriza nebabakuba emiggo n’emmotoka kwebabadde batikka kasooli nebajiteekera omuliro, police esaanze basigaddeko kikuba mukono.
Abatuuze bagamba nti waliwo abantu abazze eggulo limu nebalamuza kasooli ono, wabula nebalemagana ebbeeyi ne nnyiniye, bateebereza nti bandiba nga bebaakomyewo ekiro nebasalawo okumubba.
Police abakubiddwa ebatwalidde ku mpingu mu malwaliro agenjawulo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif