Olunaku lw’ameenunula aga 37 lutuukidde mu kiseera ng’abamu ku bantu abaatoba okuleeta NRM mu buyinza bakyemulugunya olw’okusuulirirwa, era nga naabamu bagamba nti famile zaabwe teziganyiddwa kimala.
Abamu ku baali abayeekera abayingira nga baana bato abaayitibwanga ba kadogo oba ba comando, abasinga bagamba nti tebaafuna mukisa kuddayo kusoma so n’abamu ebibakwatako bitankanibwa.
Sgt Gitta Musoke, eyali owemyaka 12 ebiseera NRA weyatandikira olutalo, agamba nti eyali omuduumizi wabwe ebiseera ebyo kati president Museveni, yabasuubiza okubazaayo okusoma n’okubawa ebirungi nga bamaze okuwangula olutalo, wabula nti nokutuusa leero, byebalwanirira byakoma mu bigambo.
Gitta agamba nti yayingizibwa mu buyeekera nga wa myaka 12, okuva ku ssomero lya Migadde primary school gyeyali asomera ne banne nebasuubizibwa nti olutalo bweruggwa baali bakutwalibwa baddemu okusomera e Kampala, bawebwe emmotoka n’ennyumba ezirimu amasannyalaze.
“Nze n’okutuusa kati nkyapangisa ennyuma, nze n’amasannyalazi ngakozesaako ndi mu saloon nga bansala nviiri” sgt Gitta Musoke
Janat Kiconco, muwala w’afande Kwikiriza Godfrey eyafiira e Kamusenene mu muluka gwe Ndagi mu ggombolola ye Ngoma, ngolutalo kyerujje lutandike, agamba nti basisinkanye president Museveni enfunda ezenjawulo ng’abasuubiza okubakwasizaako wabula myaka 37 tebalina kyebaafunye.
Hajji Abdul Nadduli, eyaliko minister era ssentebe wa district ye Luweero, ebimu ku bifo ebyasinga okukosebwa olutalo, agamba nti ebisinga bibadde bitambudde bulungi naddala okuleetawo emirembe, naye nti bannabyabufuzi bebamu ku bakyalemesezza government okutambulira ku bigendererwa ebyabalwanya.
Wabula Hajji Yunus Kakande, omuteesiteesi omukulu mu yaafesi y’obwa president, bwabuziddwa ku kwemulugunya kwabantu bano, agamba nti abazirwanako bonna baaganyulwa newankubadde nti abeemulugunya tebagwayo.
Maj. Matayo Kyaligonza, omu ku bazirwanako era abaganyuddwa mu government, awabudde abeemulugunya okuba nebirowoozo ebituufu ebibatwala mu maaso mu kifo kyokwemulugunya buli kadde.
Abayekeera ba National Resistance Army, (NRA), baayingira ensiko mu myaka gye 80 n’abajaasi 27 akwali Yoweri Kaguta Museveni era omukulembeze wa Uganda, Paul Kagame owe Rwanda, Brig Andrew Lutaaya, Jack Muchunguzi, Charles Tusiime Rutarago omugenzi Gen Elly Tumwiine nabalala.
Nga 25 January,1986 ekibinja ekyali kiduumirwa Patrick Lumumba kyesogga enkambi y’amagye eyali mu Lubiri e Mengo, awamu n’enkambi y’e Makindye.
Nga 26 January 1986, National Resistance Army yawamba obuyinza n’okutuuka kakano government gyebaaleeta eya NRM yekyafuga.#