Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda kakyatubidde nezimu ku nsimbi ezaalina okusasulwa abantu abaayambako akakiiko kano mu kalulu ka 2026, bangi ennamba z’essimu zebaawaayo okussaako ensimbi teziri mu mannya gabwe.
Akakiiko kebyokulonda kaawandiisa abakozi abekiseera abaasoba mu mitwalo 10, okwetoolola eggwanga okukayambako mu kulonda.
Polling official yalina okusasulwa shillings emitwaalo 100,000/= buli lunaku, songa omumyuka we alina okusasulwa emitwalo 75,000/= buli lunnaku lwokulonda
Akakiiko kabawangayo eccupa ya soda, akaccupa k’amazzi, ne packet ya biscuit ng’ekyemisana.
Wabula bangi bakaaba nti omwezi mulamba okuva okulonda lwekwaggwa tebalabanga sente zaabwe.
Kuliko abasirikale ba police abaakuuma abaali beesimbyewo kubwa president, ababanja ensimbi eziri eyo mu million 10 buli omu.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti okusasula kugenda mu maaso nga kuyita ku ssimu mu nkola eya mobile money, nti wabula bangi kwabo abasaayo essimu ezitali mu mannya gaabwe ab’ebyensmbi tebasobola kusindiika nsimbi eri abantu beteekakasa.
Akakiiko kebyokulonda kagamba nti okusasula kuno kutambulira mu mitendera, nga basooka n’abantu abaakola kukulonda kwa president ,kwekubasaba bagumiikirize.#












