Abaana 2 bafiiridde mu nju mwebabadde, amazzi gabayingidde nebabulwako ayamba, nnyabwe Lenunu Rose abadde akedde kugenda kukola.
Kuliko Otim Kisa Eliza wa myaka 3 ne Ochaka Chon myezi 11 egy’obukulu.
Enjega eno egudde mu Mulimira zone Bukoto mu gombolola ye Nakawa mu Kampala.
Waliwo emirambo emirala egy’abakulu ginnyuluddwa e Kinnawattaka mu Nakawa.
Meeya we Gombolola ye Nakawa Paul Mugambe nga yomu kubatuuse mu kifo abaana webafiiridde awanjagidde KCCA ebayambe ku myala gyebaaziba nga bakola enguudo mu kitundu.
Mu ngeri yeemu omwana abadde azannyira mu mazzi akubiddwa amasannyalaze ku kyalo Kibe Zone ku Kalerwe mu Kampala.
Ate mu kitundu kye Kosovo Ssaalama mu gombolola ye Makindye, embeera ekyali yabunkenke, abaana 2 tebalabikako nabo babuze ku makya mu kiseera enkuba mwetonyedde.#