Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kabowa mu Ssembuule A zone mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, abaana babiri basirikkidde mu Muliro ogukutte ennyumba.
Omuliro guno gutandise ku saawa nga munaana ez’ekiro ekikeesezza olwa nga 27 January,2026.
Kigambibwa nti maama wabwe yabadde yabaggalidde mu nnyumba naagenda okunywa omwenge, agenze okuva mu bbaala ng’ebitalo byagudde dda.
Abatuuze bagamba nti ku ssaawa munaaba batandiise okulaba omuliro ogw’amaanyi nga guva mu nnyumba ya mutuuze munaabwe, nebagezaako okuzikiza, n’okukubira police, wabula egenze okutuuka ng’abaana bayidde.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











