Abatuuze be Kitende B ku luguudo lw’e Ntebbe baguddemu entiisa, abaana babiri ababadde bawugira mu kiddiba bwebafiriddemu.
Abatuuze bagamba nti waliwo ebinnya ebisimwamu ebbumba mu kitundu kino, abaana bwebavudde okusamba omupiira akawungeezi nebagenda bawugemu ebbuba neribakwatirayo mu mazzi nebafiiramu.
Abatuuze okuva mu bitundu bye Kitende bakuηaanidde ku biddiba bino okunnyululayo emirambo nga bayambibwako Police .
Wabula abatuuze balumiriza nti abasima ebbumba mu kitundu kino nebataziba binnya bebavuddeko obuzibu buno,obuleetedde amazzi okwanjaala abaana nebalowooza Nnyanja.
Mu kiseera kino omulambo gw’omwana omu gwegwakalabikako.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif