Government ya Uganda ekyalemeddwa okufuna ensimbi okuliyirira abaali abakozi baayo abaali baweereza mu kitongole ki Uganda posts and telecommunication corporation, ekyaggyibwawo mu mwaka gwa 1997
Ekitongole kino government yakigattulula nekolamu ebitongole ebirala okuli posta Uganda, Uganda Telecommunications Ltd, Post Bank, Uganda Communications Commission.
Wabula government bweyali esattulula ekitongole ekyo,, abakozi abaali baweereza mu kitongole kino ki Uganda posts and telecommunication corporation tebaasasulwa misaala gyabwe songa n’ensimbi zaabwe ez’obukadde ezimanyiddwanga pension tebazifuna.
Mu mwaka gwa 2003, abaali abakozi baddukira mu kooti nga bemulugunya olw’obutasasulwa nsimbi zabwe zebaali babanja.
Mu 2018 kooti yasala omusango era neragira government abantu abo ebasasule.
Mu may 2021 olukiiko lwa ba minister lwalagira nti ensimbi ezo ziteekebwe mu mbalirira ya government basasulwe.
Okuva mu mwaka gwa 1999, nokutuusa olwaleero ensimbi eziwera obuwumbi 187 ezaali zirina okusasulwa abaali abakozi tezinasasulwa nga, bangi kubbo baatuuka n’okuva mu bulamu bwensi nga tebasasuddwa.
Abalala batambudde nga beewuuba mu bitongole ebikwatibwako okubanja ensimbi zabwe nga buteerere.
Ssabalondoozi w’ebitabo bya government Edward Akol mu alipoota ye ekwaata ku ntambuza yemirimu bitongole bya government eyol’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 eraze nti ebbanja lino liri wansi wa ministry y’amawulire ,tekinologiya n’okuluηamya eggwanga.
Wabula nti Ebbanja lino lizze teriteekebwa mu mbalirira ya ministry eno okuliyirira abantu abo.
Ssabalondoozi w’ebitabo bya government agambye nti olukiiko lwaba minister lwasalawo ensimbi zinoonyezebwe abantu abo baliyirirwe.
Wabula n’okutuusa kati government yeemu ekyalemeddwa okufuna ensimbi ezo okussibwa ku mbalirirwa y’eggwanga okuliyirira abantu abo abafiirwa emirimu mu mwaka gwa 1999, oluvanyuma lwokugyawo ekitongole ki Uganda Posts and tecommunication corporation.#













