Abantu babiri abagambibwa okusangibwa n’amabaati 214 agabbibwa mu wofiisi ya Ssaabaminister, bagguddwako emisango 4 gyebagenda okutandika okuwerennemba nagyo mu kooti.
Abakwate kuliko Rose Nassaka owemyaaka 45 ne Margret Musoke 46, nga bonna batuuze ku kyalo Bufulu mu Entebbe Municipality mu district ye Wakiso.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, ategeezezza nti egimu ku misango egibavunaanibwa kuliko okufuna ebintu bya government mu lukujjukujju , okusangibwa n’ebintu ebibbe, n’emisango emirala.
Amabaati agoogerwako ge gamu ku mabaati government geyali eguze gaweerezebwe abantu abawejjere mu kitundu kye Kalamoja okukyusa obulamu bwabwe, wabula agasinga obunhi kyazuulwa nti abakulu mu government baagagabana omuli ne ba minister.
Wadde nga ba minister 3 bebakavunaanibwa emisango gy’okutwala amabaati mu lukujjukujju, okuli omubeezi ow’ensimbi Amos Lugoloobi, Maru Gorret Kitutu ow’ensonga ze Kalamoja n’omubeezi we Agnes Nandutu, abalala bangi okuli ne sipiika wa parliament Anitah Annet Among bakyalya butaala, era nga nabamu amabaati baagazaayo mu wofiisi ya Ssaabaminister.#