Ebyokwerinda binywezeddwa ku nguudo ezenjawulo eziyingira mu district ye Kamuli, okulemesa omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Sentamu okukyaala mu district eyo.
Wadde ng’abakulembeze ba NUP mu buvanjuba bw’eggwanga bakakasizza nti baategeezezza abakuuma ddembe ku kukyala kwa Kyagulanyi Sentamu, wabula omwogezi wa police mu kitundu ASP Mike Kasadha agambye nti aba NUP tebannaweebwa lukusa wadde baawandiika.
Afande Kasadha agamba nti aba NUP baava dda ku biragiro ebyaali bibaweereddwa mu kusooka, era nti sibakukkirizibwa kukuba lukungaana lwonna e Kananage mu Kamuli.
Ki kisaawe e Kananage mu district ye Kamuli aba NUP gyebategese olukungaana, police eyiiriddwayo mu bungi.
Bisakiddwa: Kirabira Fred