Bannakibiina kya National Unity Platform 28 bagaaniddwa nate okuyimbulwa kuy kakalu ka kooti omulundi ogwókusatu, nga kooti egamba nti tebalina maka ga nkalakkalira gyebayinza kusangibwa singa babeera bateereddwa.
kino kitabudde abasibe nábantu babwe ababadde bagenze okubeyimirira, ekireetedde omu ku basibe Muydin Kakooza amanyiddwa nga Saanya okugezaako okubuuka mu kaguli nga bwalangira ssentebe wa kooti Brig. Gen Freeman Mugabe obutaba mwenkanya.
Embeera eno ewalirizza amagye okwongera okuyiibwa okwetoloola kooti eno, Saanya naggalirwa mu kadduukulu kémmotoka ya millitary police.
Guno omulundi gwakubiri nga Saanya atabukira mu kaguli ka kooti, ngálaga obutali bumativu olwókumala ebbanga eddene ku alimanda, nti so nga balangibwa bwemage.
Baziddwayo ku alimanda e Kitalya gyebaakamala eebbanga lya myaka 3, bakudda mu kooti nga 06 May,2024, oludda oluwaabi werusuubirwa okuleetas omujulizi waalwo owomusanvu.
Obujulizi obwakaleetebwa mu kooti bulaga nti abavunaanibwa abamu baakwatibwa mu mwaka gwa 2020 abalala, baakwatibwa ngákalulu ka 2021 kakaggwa, ku bigambibwa nti baakwatibwa nébintu byámagye byebatakkirizibwa kubeera nabyo, saako okugezaako okulya mu government olukwe némirala.
Bisakiddwa: Betty Zziwa