Abamu ku banna kibiina kya NRM e Lwengo bagala government ekole ennoongosereza mu mateeka, ekendeeze omuwendo gw’Ababaka ba Parliament okutaasa ensimbi y’omuwi w’omusolo ezibasaasaanyizibwako nti nga bamu byebakola tebitegerekeka.
Banna kibiina kya NRM e Lwengo nga bakulembeddwamu Ssentebe w’eggombolola ya Lwengo Rural, Kizito Lawrence bagambye nti ssente ezisasanyizibwa ku babaka ba parliament ng’ez’okubagulira emmotoka, ensako yabwe, omusaala n’endala nnyingi nnyo.
Bagamba nti singa omuwendo gwabwe gukendezebwa zisobola okufissibwa n’eziyambako mu kukola enguudo, okuyamba kubantu abanaku n’okuzimba amalwaliro ag’omulembe.
Ssentebe Kizito Lawrence agambye nti entegeka y’okukendeeza ensimbi ezisaasaanyizibwa tesaanye kukoma kukugatta ebitongole ng’ekya UCDA, UMRA, UNRA, eky’amata, ekyapamba n’ebirala.
Agambye nti sente y’omuwi w’omusolo esobola okutaasibwa nga wakiri buli District erina ababaka babiri bokka okuli avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu n’avunaanyizibwa ku nsonga ez’enjawulo, olwo abo n’ebegatta ku Ssentebe wa District n’ebaweereza abantu naddala nga bakola amateeka, okuyisa embalirira n’okulondoola ensimbi.
President Museveni yannyonyola nti eky’okugatta ebitongole n’ebirala nebigyibwawo kyagenderera mutaasa nsimbi za muwi wa musolo.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito