Banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency, balonze omuzannyi wa rugby Aaron Ofory Rwoth ng’omuzannyi asinze abalala bonna mu mwezi gwa April 2022.
Aaron Ofory Rwoth azannyira mu ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Rugby eya Uganda Rugby Sevens ne club ya Heathens.
Okutuuka ku buwanguzi kivudde ku mutindo omusufu gweyayoleseza mu mpaka za Africa Rugby Sevens, Uganda newangula ekikopo.
Empaka zino era zezaayambye Uganda okukiika mu mpaka za Commonwealth Games n’empaka za Rugby World Cup.
Aaron Ofory Rwoth engule eno agivuganyizaako n’abazannyi abalala okubadde Adrian Kasito naye wa Rugby Sevens ne Malcom Daniel Okello owa ttiimu yabatasussa myaka 20.
Mu muzannyo gw’emisinde, Merclyline Chelengat yasinze.
Omupiira ogw’ebigere Shaban Muhammad owa Onduparaka yasinze, amezze Cesar Manzoki ne Halid Lwaliwa aba Vipers.
Mu muzannyo gwa basketball Jerry Kayanga owa UCU Cardinals yasinze.
Mu Volleyball Sharif Nabangi owa club ya Orange Blockbusters eyawangudde liigi ya babinywera yasinze.
Abawanguzi baweredwa engule n’ensimbi enkalu ezibasiima.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe