President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atabukdde police olw’obutavunaana abantu abaatiisatiisa abawagizi ba NRM ne batuuka n’okubalemesa okulonda mu kalulu akaakubwa nga 15 January,2026, ekyamuviirako obutaweza muwendo gw’obululu bweyali asuubira okufuna.
Abadde ku mukolo gw’okujjukira bwegiweze emyaka 40, bukyanga NRM ekwata obuyinza okukulembera Uganda nga 26 January,1986.
Okusinzira ku kakiiko k’e byokulonda Mwami Museveni yafuna obululu obukadde 7,946,772, ate eyakwata eky’okubiri munna NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yafuna obuluku 2,741,238.
President Museveni agambye nti yali asuubira obululu obusoba mu bukadde 14.
Agambye nti police teyafaayo kimala okukwata ab’oludda oluvuganya abaali batiisatiisa abawagizi ba NRM nebabalemesa okulonda mu bitundu by’eggwanga bingi, nagamba nti essaawa yonna abenyigira mu bikolwa ebyo bajja kubatereeza.
President Museveni mu ngeri yeemu ayogedde ku muwendo gwa bantu Omutono abajumbidde okulonda kw’omulundi guno, agamba nti nakyo kyavudde ku booludda oluvuganya government abazzeenga batiisatiisa abalonzi.
Agambye nti ne ba memba ba NRM abeeyisa obubi ku bantu, saako abebyokwerinda abaakwata obubi abantu abaali bazze okulonda nabo baalemesa abalonzi bangi okutya okugenda okulonda.
Obukiiko bwa PDM busattululwe:
President Museveni alagidde nti obukiiko obwatekebwawo ku miruka okuddukanya program ya government eyatekebwawo okulakulanya abantu eya Parish Development Model okusattululwa bunnambiro walondebwewo obukiiko obulala, olw’okukizula nti butadde emivuyo mingi mu enteekateeka eno.
Museveni agamba nti yafunye amawulire nti abamu ku bakulembeze mu bukiiko buno nga n’abaami b’emiriuka bennyini kwebali, abaalina okulondoola PDM, bateekamu emivuyo mingi mu omuli nokusolooza ssente ku bantu, okubawa ezitawera ne birala, tebukyasobola kukola mirimu.
Mwmami Museveni alagidde mbagirawo obukiiko buyimirizibwe era abenyigira mukubulankanya ssente za PDM, ne mivuyo gyonna emirala bakwatibwe era bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka.
Mungeri yemu Museveni agambye nti abamu ku baami bemiruka mu bitundu okuli Buwambo, Marach ne Iganga yalagira bwakwatibwe oluvanyuma lwokwekenenya obulungi nti bateeka vulugu mu ssente za PDM ezaalina okukakulanya abantu.
Mwami Museveni ategezeza nti ne nteekateeka zokufunira abantu obutale gyebatunda ebyamaguzi byabwe zigenda maaso okulaba nga banyweza omukago gwa East African Community.
Gen Museveni agambye mu kisanja kino government ye egenda kussa amaanyi mu by’obulamu, ebyenjigiriza, n’ebirala.#











