Akulira eby’okulonda mu Kampala Jennifer Kyobutungi alangiridde Balimwezo Ronald Nsubuga, nga Lord Mayor wa Kampala omuggya, mu kalulu ka 2026.
Balimwezo abadde avuganya n’abantu abalala 7, okuli n’Omuloodi Erias Lukwago abadde mu ntebe eno okumala emyaka 15.
Balimwezo afunye obululu 142,220, naddirirwa munna NRM Kizito Moses Nsubuga, n’obululu 43,615, Erias Lukwago owa PFF afunye 41,915 ne Beatrice Mao owa DP afunye 2,162
Abalala ye Nabbila Naggayi atajidde mu kibiina afunye 1,854, Kasozi Ibrahim Biribawa owa FDC afunye 1,427, Kibalama Eddie Bazira atalina kibiina 188, Yamureebire Jonathan naye talina kibiina afunye 119.

Akalulu ka Lord mayor wa Kampala nebakansala ba KCCA saako ba ssentebe ba district n’abakiise ku lukiiko lwa districts kaakubiddwa nga 22 January,2026 #











