Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde nti nga 27 January,2026 kwekuddamu okulonda mu constituency ya Ajuri County, ku polling stations 18 zokka ezigambibwa nti zaaliko emivuyo.
Birangiriddwa Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi oluvannyuma lwa munna UPC Jalameso Fred okuteeka akakiiko kunninga kamulangirire, ng’alumiriza nti yawangula Nnampala wa government Denis Hamson Obua.
Eyakwatira ekibiina ki Uganda People’s Congress bendera ku bwa MP mu constituency agamba nti yafuna obululu 14,331 ate munne gweyali avuganya naye ku mbiranye era Nnampala wa government Denis Hamson Obua naafuna obululu 12,963 okuva ku polling station 160, wadde nga constituency eyo ekolebwa polling station 178.
Akakiiko k’ebokulonda mu District ye Alebtong tekannaba kulangirira muwanguzi wa Ajuri County, nga kalumiriza nti tekalina mpapula ziraga ebyava mu kulonda okuva ku polling station 18.
Kyokka Jalameso agamba nti bwogatta ebyava mu kulonda mu polling station 18 yafuna obululu 766 ate Denis Hamson Obua naafuna obululu 1,628, nga bwogattako ebyava mu polling station 160 Jalameso Fred abeera nobululu 15,097 ate Denis Obua abeera noobululu 14,591, enjawulo ebeera ya bululu 506.
Jalameso awakanya eby’okuddamu okulonda mu polling station 18 eziriko kalumanywera nti kubanga abamuvuganya baandikozesa akakisa ako okumuyita ku litalaba.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus












