Akakiiko k’ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda kagobye bannabyabufuzi 11 mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kya meeya wa Makindye municipality, nekalangirira munnaNRM Yasin Omari ku buwanguzi nga tavuganyiziddwa.
Akakiiko kagobye abantu 11, kwabo 12 abababadde bavuganya mu lwokaano luno, kategeezezza nti abalala baalemererwa okufuna emikono egibasemba emituufu.
Bannabyafuzi e kumi n’omu abaggyiddwa mu lwokaano kuliko Lusagala John Bosco wa NUP, Sabuka Tegatoola David, Tabalamule isamail Owa PFF, Nakibinge John Jjuuko wa NEED, abalala kuliko Ssebaggala Harunah, Nabadda sumayiyah, Ssemata Edu Geoffrey, Luba Lwanga Charles, Kayima Juma, Ssewanyana Malcom wamu ne Philip Nyika.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon mugenyi Byabakama, bwabadde alangirira munnakibiina Kya NRM Yasin Omari ku kifo ky`Obwa Mayor bwe Ggombolola ye Makindye nga tavuganyiziddwa, asabye abatamatidde nansala ye beyongereeyo mu kkooti.
Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama agamba nti bakizudde nti omukozi wabwe eyasunsula abantu bano bonna yakola kikyamu oluvanyuma lwa bano okuba nti emikono egyibasemba okuvugannya ku kifo kino gyalimu ebirumira bingi, nga bonna tebagyiweza ate abandi bagyigyingirira, abalala emikono egibasemba gyali gifaanagaa.
Haruna Ssebaggala alumiriza akakiiko keby’okulonda okubeera nekyeekubiira, era alangidde nti agenda kusisinkana bannamateeka be, bamalirize ebyokutwala akakiiko k’eby’okulonda mu mbuga z’amateeka.#











