Ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ki FIFA, kikakasizza baddifiri bannauganda 25 abafunye bewadde badge ezibakkiriza okulamula omupiira ku mutendera gw’ensi yonna omwaka guno 2026.
Ku baddifiri bano, 8 ba mu kisaawe wakati okuli ne Shamirah Nabadda ali mu mpaka za Africa Cup of Nations eziyindira e Morocco mu kiseera kino.
Abalala ye Lucky Razake Kasalirwe, Diana Mulungi, Dick Okello, William Oloya, Josephine Nantongo, Joshua Duula ne George Olemu.
Josephine Nantongo ne Nayebale Babra be bapya ku lukalala luno.
Baddifiri 11 bawuubi ba kitambala okuli Ronald Katenya, Emmanuel Okudra, Brianson Musisi, Hakim Mulindwa, Nayebale Babra nabalala.
Mungeri yeemu baddifiri 2 ba muzannyo gwa Futsal ate 4 ba muzannyo gwa Beach Soccer.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe









