Abaami ba Kabaka ab’Amasaza ga Buganda buli omu awera Nkolokooto nti ku mulundi guno essaza lye lyerigenda okuvaamu omuzira mu bazira w’Entanda ya Buganda ow`Omwaka guno 2025.
Abazira abagenda okubbinkanira mu Nkuuka Bwaguuga enkya nga 31 December,2025 mu lubiri e Mengo, bava mu masaza okuli Mawokota, Kyaggwe, Buddu, Kyadondo ne Butambala.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaggwe Ssekiboobo Matovu Vincent Bintubizibu, agamba nti omwana wabwe Ntojjo David eyeddira e Ntalaganya, yangenda okufuuka omuzira mu bazira w`omwaka guno., era akowoodde bannaKyaggwe yonna gyebali beyiwe mu Nkuuka bamuwagire.
Omwami wa Kakabaka atwala essaza Butambula Katambala Hajji Suraiman Magala, agamba nti omwana wabwe Ssewanyana Matovu eyeddira e Nsenene bamulinamu obwesiggwa bungi nnyo era bakakasa nti tagenda kulonzalonza kuwangula banne bonna bwebali mu lwokaano ye afuuke Omuzira mu Bazira 2025.
Kayima Al Hajji Hassan Kasujja Kagga omwami wa Kakabaka atwala essaza Mawokota, Agamba nti ku Bazira omukaaga abali munsiike, be bokka bebalinamu omukyala Nnanyunja Hasifah eyeddira Enkima, era akowoodde bannaMawokota beyiwe mu Nkuuka babereewo ng’abajulizi.
Kaggo Hajji Ahamed Matovu Magandazi omwami atwala essaza Kyaddondo, agamba nti ku Bazira 6 abali mu lwokaano balinako 3, okuli Mukooza Julius eyeddira Ente, Basajjamivule Yoana eyeddira Enkima, wamu ne Nsobya George eyeddira Effumbe.
Kaggo awera nti kwabo abasatu tebasobola kubulako Muzira mu bazira, kwekukoowoola banna Kyadondo okujja mu bungi mu Nkuuka muwagire abantu bammwe.#












