Ekikangabwa kigudde ku kyalo mitondo ekisangibwa mu gombolola ye Lwankoni mu district ye Kyotera omusajja Zirimenya Pascal 80 akubye Mukyala we Magdrina Namirembe 70 naamutta.
Kigambibwa nti olutalo lwabafumbo bano lwatandiika mu nnaku za ssekkukulu,nti omukyala bweyagaana okufumba emmere ya sekukkulu ng’agamba mulwadde.
Kigambibwa nti Obutakwatagana bwayongedde ku Sunday nga 28 December,2025, omusajja naakuba omukazi naamutta.
Abatuuze bebatemezaako police ye Kaliisizo eyaggyeyo omulambo negutwala mugwanika lye Ddwaliiro lye Kaliisizo, neekwata Zirimenya Pascal nemutwala mu kadduukulu kaayo.
Zirimenya agambye nti teyategedde nti mukyalawe yabadde mulwadde, ate nti yamukubyemu empi bbiri zokka yalabidde awo ng’asirika omulundi gumu.
Omwogezi wa police Twaha Kasirye agambye nti Zirimenya agenda kuggulwako emisango mu kooti gyaneewolezaako.#
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi












