Akakiiko kÉbyokulonda mu district ye Katakwi kalangiridde Omumyuka wÓmukulembeze wa Uganda Maj. Jessica Alupo , ku kifo ky’omubaka wa parliament ey’omulundi ogwe 12 omukyala owa district eyo eye Katakwi, oluvannyuma lwÁbadde amuvuganya Angella Anuken okuwanduka mu lwokaano.
Obuwanguzi bwa Maj Jessica Alupo bulangiriddwa akulira ebyokulonda mu district, Makubuya Stephen ku lwa ssentebe wÁkakiiko kÉbyokulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama.
Mu kiwandiiko kya Anuken ategeezezza nti tabadde nabusobozi bweyongerayo nÓkunoonya akalulu.
Ebyo nga bikyaali awo Akakiiko kÉbyokulonda nate kawanduukuludde munna kibiina ki National Unity Platform Sarah Kyarimpa Resty, abadde avuganya ku kifo kyÓmubaka omukyaala owa district ye Isingiro.
Kino kiddiridde omu ku balonzi mu kitundu ekyo Sharrif Lwasa, okwekubira enduulu eri akakiiko kébyokulonda nga 11/December/2025, nga alumiriza nti egimu ku mikono gyábantu abasemba Sarah Kyarimpa okwesimbawo gyaliko Ebibuuzo bingi, ebyali kikontana nÓkuwandiisibwa kwe.
Abantu abawaayo emikono okusemba Kyarimpa, okwali Tadeo Niwamanya, yazuuliddwa nga yateeka omukono ku biwandiiko ebisemba Kyarimpa emirundi egisukka mu gumu, ekikontana nÁmateeka agaluηamya ebyokwesimbawo.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssentebe wÁkakiiko kÉbyokulonda mu ggwanga Omulamuzi Simon Mugenyii Byabakama, agambye nti enjuyi zombi zituukiddwako nga okusalawo kuno tekunnakolebwa.
Omulamuzi Byabakama ategeezezza nti Kyarimpa yalemererwa okutuukiriza obukwakkulizo, omwali okuwaayo emikono gyÁbalonzi 10 mu district ye Isingiro.
Jolly Tukamugisha amyuka president wa NUP mu bugwanjuba bwa Uganda ategeezezza nti abadde tannnafuna mawulire gonna gakwaata ku kuwanduukululwa kwÓmuntu waabwe.
Okuvuganya ku kifo kino mu kadde kano kusigadde wakati wabantu babiri, okuli Justine Ayebazibwe Kasheija atalina kibiina oluvannyuma lwokugwa mu kamyuufu ka NRM, ne munna NRM Lilian Ruteraho.#












