Ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA kirangiridde nga bwekyongeza omutemwa gw’ensimbi ebitundu 50% ezigenda okugabanyizibwa ttiimu zonna 48 ezigenda okuvuganya mu kikopo ky’ensi yonna ekya FIFA World Cup ekigenda okubeerawo omwaka ogujja 2026.
Empaka za FIFA World Cup zigenda kuzannyibwa okuva nga 11 June okutuuka nga 19 July omwaka ogujja 2026 mu America, Canada ne Mexico.
Mu kusooka FIFA yayongeza ku muwendo gwa ttiimu ezigenda okuvuganya mu mpaka zino okutuuka ku 48 okuva ku 32 ezibadde zivuganya mu mpaka eziyise.
Omugatte ensimbi za doola obukadde 727 zezigenda okugabanyizibwa ttiimu zonna 48, nga omuwanguzi agenda kufuna ensimbi za doola obukadde 50, ow’okubiri obukadde bwa doola 33, ow’okusatu obukadde bwa doola 29 ate ow’okuuna obukadde bwa doola 27.
Okuva ku kifo eky’okutaano okutuuka ku ky’omunaana buli omu ajja kufuna ensimbi za doola obukadde 19.
Okuva kuweekifo ekyo 09 okutuuka ku 16 buli omu ajja kufuna ensimbi za doola obukadde 15.
Okuva ku 17 okutuuka ku 32 buli omu ajja kufuna ensimbi za doola obukadde 11 ate olwo okuva ku 33 okutuuka ku 48 buli omu ajja kufuna obukadde bwa doola 09.
Okusookera ddala buli ttiimu egenda okuvuganya mu mpaka zino egenda kusooka okufuna ensimbi za doola akakadde kamu n’ekitundu 1.5m, nga kitegeeza nti wakiri buli emunl yakubukayo n’ensimbi entono obukadde bwa doola 10 n’ekitundu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe










