Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku Radio ya Kabaka CBS, agattiddwa mu bufumbo obutukuvu nr Sonia Babirye mu Lutikko e Namirembe.
Bagattiddwa Omulabirizi we Luweero eyawummula Kitaffe mu Katonda Eridad Nsubuga.

Omulabirizi abasabye okweyuna Omutonzi mu bufumbo bwabwe, n’Okutambulira mu bibiina by’Abakkiriza, balambikibwe bulungi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye yetabye mu kusaba kuno, naasaba abafumbo abayivu obutakulembeza buyigirize mu bufumbo, babeere ba bulijjo olwo bubanyumire.
Katikkiro ategeezezza nti Obufumbo obutambulizibwa ku bitabo tebuwangaala, naasaba abagole okuwangana ekitiibwa n’Okutegeeragana mu buli mbeera.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza Dr Sam Kazibwe olw’Obwetowaaze n’Obukozi obusukkulumu eri Emirimu gya Ssaabasajja Kabaka ne ku ssettendekero wa Uganda Christian University , naasaba abaweereza bonna okutwaala ekyokulabirako ekyo ekirungi.

Akulira ensirukanya y’Emirimu ku Radio ya Kabaka CBS Omuk Robet Kasozi , agambye nti Dr Sam Kazibwe muweereza wanjawulo , olwenkolaye etaliimu kwekkiriranya, era naamusaba akole bwaatyo ne mu maka.

Embaga eno yetabiddwaako omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, Minister wa Cabinet ,Olukiiko n’ensonga ezenkizo mu Bwakabaka Owek Noah Kiyimba, ba ssenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka , Abaweereza ku Rado ya Beene CBS, n’Ebikonge bingi.

Dr Sam Kazibwe n’Omukyaala Sonia Babirye Kazibwe bwebavudde e Namirembe neboolekera Ddungu Resort e Munyonyo mu Kampala gyebaseemberezza abagenyi babwe.

Dr.Sam Kazibwe yakuweereza ppulogulaamu ya Kalabaalaba buli Sunday ku saawa 4 okutuuka ku ttaano ezokumakya ku 89.2 radio Emmanduso, nakutusaako ebifa mu mawanga agenjawulo buli Thursday okuva ssaawa 4 okutuuka 6 ku mukutu gwa 88.8 radio ey’obujjajja, ne Londoola ensonga okuva ku ssaawa 2 okutuuka ku ssaawa 3 ez’ekiro kkuva Monday okutuuka Friday.












