Ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA, kikakasiza nti abategesi aba Mexico be bagenda okuggulawo empaka z’ensi yonna eza FIFA World Cup ez’omwaka ogujja 2026 nga battunka ne South Africa.
Empaka za FIFA World Cup zigenda kuzanyibwa okuva nga 11 June okutuuka nga 19 July omwaka ogujja, era zigenda kutegekebwa America, Canada ne Mexico.
Obululu obw’ebibinja obw’empaka zino bukwatiddwa mu John F Kennedy Center mu kibuga Washington DC ekya USA, era amawanga 48 gegasengekeddwa mu bibinja 12 nga buli kibinja kirina ttiimu 4.
Oluvanyuma lwokukwata obululu buno kikakasiddwa nti Mexico yegenda okuggulawo empaka zino ng’ettunka ne South Africa mu kibinja A, era omupiira guno gyakuzanyibwa mu kisaawe kya Azeteca mu kibuga Mexican City.
Wabula wakyaliwo ttiimu ezikyalina okuyita mu kasengejja akasembayo okuli ne Democratic Republic of Congo okuva ku ssemazinga Africa.
Africa mu mpaka zino yakiikiriddwa amawanga 09 obuterevu okuli Senegal, Morocco, Algeria, Misiri, Tunisia, Cape Verde, South Africa, Ivory Coast ne Ghana. #
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












