Ábaaliko abayizi ku Budo Junior school ne King’s college Budo nga bayita mu kibiina kyabwe ekibagatta ki Old Budonian Club, nga bayambibwako abakumpuni ya JESA badduukiridde abaana abatawanyizibwa obulwadde bwa kkookolo, babatwalidde amata okubayambako okufuna ammere eriisa omubiri.
Amata gano bagawaddeyo eri abakulu mu ddwaliro lya Kookolo erya Uganda Cancer Institute e Mulago.

Abasawo ba Kookolo bategeezezza nti abantu abalina kkookolo betaaga okulya Obulungi naddala emmere ezimba emibiri, kisobozese emibiri gyabwe okuzaala obutoffaali obulina embavu okulwanyisa Kookolo.
Dr Nickson Onzima nga yaakulira okunoonyereza ku ndwadde ku Uganda cancer institute yebazizza bannabuddo ne kampuni ya JESA olw’okufaayo eri abaana , nga bagenda kubawa amata ga bwereere okumala emyezi mukaaga.

Dr Rose Nankinga omukugu mu kujjanjaba abaana abalina Kookolo era nga naye memba mu Old Budonians Club, ategeezezza nti omuwendo gwÁbaana abawandiisibwa mu bitabo nga balina Kookolo gweyongera buli olukya, kyokka nga okusomooza kukyaali Kunene mu kujjanjaba obulwadde buno.
Dr Rose mungeri yeemu asabye abazadde abalina abaana abalina Kookolo, okukozesa abakugu mu byÉndya, babeere nÓbulamu Obulungi.
Paul Waddimba omukwanaganya wÉmirimu mu Buddonians club, agambye nti bakwongera okunoonya bannamikago abalala bangi okudduukirira abaana abalina Kookolo.
Bisakiddwa: Kato Denis












