Akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS FM, Hajji Abby Mukiibi Nkaaga mikwano gye gimutegekedde akabaga akasiima obuweereza bwe, bakamusuddeko busuuzi ebiyengeyenge nebijja.
Akabaga kabadde ku hotel Africana, era nga minister w’ebyentambula Gen.Katumba Wamala yamutuusizza mu kifo ewaabadde akabaga, nga mikwano gye n’ab’oluganda baatudde dda ekyamwewunyisa okuba nga ye yabadde tamanyi kigenda mu maaso.
Omukolo gwategekeddwa ku mutindo gwa waggulu, n’enteekateeka ez’enjawulo ezaakoleddwa.
Omwabadde abayimbi okusanyusa abantu, eby’okulya n’okunywa ttoomooni, saako abantu abenjawulo abaayogedde ku Abby Mukiibi nga bamwebaza emirimu egyenjawulo gyakoze mu buweereza obwenjawulo ng’akozesa eddoboozi lye, okusanyusa abantu, okubakunga n’okubasomesa ku bintu ebyenjawulo.
Omulangira David Kintu Wasajja yeebazizza Hajji Abby Mukiibi Nkaagaolw’okwagala Obwakabaka n’ensi ye, ng’abiraze ng’ayita mu mpeerezaze ez’emizannyi, Radio ne TV.
Omulangira era yebazizza Hajji Abby olw’okubeera omukozi n’okwagala abantu, ekimufudde omu ku bantu aboogera ensi n’ewulira.

Omuyimbi Mesearch Ssemakula omu ku baakulembeddemu enteekateeka, agambye nti baasalawo okukolera Abby Mukiibi akabaga kano okumusiima nga mulamu, era naasaba bakikole ne kubantu abalala okubasiima nga balamu mu kifo ky’okulinda nga bafudde nebaboogerako ebirungi nga tebakyawulira.












