Olwaleero ennaku z’omwezi ziri 01 December,2025 lunaku lwakeefumiitiriza ku kawuka ka siriimu, nga wano mu Uganda emikolo gy’eggwanga giri mu district ye Bushenyi.
Abalondoola eby’okulwanyisa akawuka kano ab’akakiiko ka Uganda Aids Commission, bagamba nti omuwendo gwabakwatibwa siriimu gweyongera okukendeera, wadde.nga wakyaliwo abakyesuulirayo ogwannaggamba, saako abasajja abakuze abaganza abawala abato.
Ssaabasajja Kabaka yegatta ku lutalo lw’okulwanyisa siriimu ng’akozesa eddoboozi lye, okukubiriza abantu bonna okwewala akawuka nga bekebeza, bebazuula nga balamu bongere okwekuuma, ate abazuuliddwa nako batandikirewo eddagala.
Mu ngeri yeemu Omutanda ng’ayita mu misinde gy’amazaalibwa ge egibaawo buli mwaka, mulimu okusomesa abantu okuziyiza siriimu n’okudduukirira omulimu gw’okugula ebikozesebwa okwewala siriimu.
Mu kaweefube ono abaami be basaale okulwanyisa okusaasaana kwa siriimu, bataase abaana abawala.
Ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ki World Health Organisation, nakyo essira kiritadde kukusomesa abantu ku nkola abantu zebasobola okukozesa okwewala siriimu, nga buli muntu yesalirawo kyasobola okukozesa.
Mulimu enkola ey’okwewala okwegatta n’omuntu gwotamanyi bwayimiridde mu by’obulamu, okukozesa obupiira, Obuweta, empeke oba empiso (oral prep or Injectables).
Bannakyewa abatakabanira eddembe ly’abalina akawuka mu Uganda nabo bawanjagidde parliament ne government okutwaliza awamu, okukola enoongosereza mu tteeka eriruamya ku nkwata yabantu abalina akawuka, erimanyiddwa nga Uganda Aids Control Act, nti lirimu bingi ebityoboola eddembe ly’obuntu.
Bannakyewa abatakanira ddembe lyabalina akawuka nga bakulembeddwamu, Immaculate Owoomugisha, ssenkulu wa Centre for Women Justice, agamba nti amateeka agamu gakyetaaga okwongera okutereeza agakwata ku mukenenya.
Mu ngeri yeemu agambye nti government ekyesuliddeyo gwa nnagamba okusiga ensimbi mu bitongole byayo awatali kwesigama ku buyambi bwa bazungu mu kulwanyisa mukenenya, ekikotoggerera kaweefube azze akolebwa okulwanyisa akawuka.
Omuwendo gw’abantu ogumanyiddwa okubeera n’akawuka guli akakadde kamu n’emitwalo 40, nga ku bano abantu akakadde kamu bokka bebali ku ddagala.
Obulwadde bwa mukenenya businga kwejirisiza mu bakyala naddala abavubuka wakati w’emyaka 15 ne 25.
Ate mu basajja obulwadde buno businga mu baami abali waggulu w’emyaka 40, ekikaatiriza nti abasajja abakulu bakyeyongera okuganza abawala abato.
Alipoota za ministry y’ebyobulamu ziraga nti kati obulwadde bukulira ku bitundu 4.9% nga bwakendeddeko okuva ku bitundu 5.4% mu myaka 5 ejiyise.
Uganda werutuukidde ku lunaku luno ng’okusoomozebwa kw’eddagala kukyali kunene, olw’eddagala eriweweza akawuka okubeera ery’ekkekwa, naddala okuva abazungu abaali basiibga okulivvujjirira okubiggyamu enta.#












