Omuvuzi w’emotoka z’empaka nakinku Ronald Ssebuguzi esitukidde mungule ey’omwaka guno 2025 eya National Rally Championship.
Calender ey’omwaka guno ekomekerezeddwa olwaleero nga 23 November,2025 e Hoima n’empaka za Kabalega Rally Championship.
Ronald Ssebuguzi engule agiwangudde mulundi gwakuna.
Yasooka okugiwangula mu 2006, 2009 ne 2014.
Ronald Ssebuguzi engule eno agiwangudde ngaali wamu n’omusomiwe owa maapu Anthony Mugambwa mu mmotoka ekika kya Ford Fiesta Proto.
Oluvanyuma lw’omuwanguzi omuvuzi w’emotoka z’empaka Ronald Ssebuguzi okuwangula engule ey’omwaka guno 2025 eya National Rally Championship, ono kakaano asibaganye ne banne okuli Charlie Lubega ne Jas Mangat, nga bonna bakawangula engule eno emirundi 4.
Calender y’emmotoka z’empaka ey’omwaka guno eya National Rally Championship, ekomekerezeddwa n’empaka eza Kabalega Rally Championship ezibadde e Hoima.
Wadde Ronald Ssebuguzi yakutte ekifo kyakuna mu mpaka ezo, naye yagenze okuzigendamu nga yetaaga obubonero 8 bwokka bweyafunye n’okusingawo, bwatyo nalangirirwa ku bwannantameggwa.
Ronald Ssebuguzi yasooka okuwangula engule eya National Rally Championship mu 2006, 2009 ne 2014, kyokka mu 2017 ne 2018 engule eno bagimutwalo ku lunaku olusemberayo ddala.
Empaka eza Kabalega Rally Championship ezigaddewo Calender ey’omwaka guno 2025, ziwanguddwa Duncan Mubiru Kikankane, Musa Sseggabwe akutte kyakubiri ate nga Umar Dauda akutte kyakusatu.
Ronald Ssebuguzi okuwangula engule eno abadde avuga emotoka ekika Ford Fiesta Proto nga ali wamu n’omusomiwe owa maapu Anthony Mugambwa.
Jas Mangat ye yawangula engule ey’omwaka ogwayita 2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












