Akakiiko k’eggwanga akavunanyizibwa ku byenjigiriza mu matendekero agawaggulu ka National Council for higher Education katangaaziza ku kiwandiiko ekiweebwa abatalina buyigirize bwa senior eyomukaaga, ekireeseewo okukubagana empawa mu bannauuganda.
Kalumanywera ali ku beeyagaliza obubaka bwa parliament abatalina satifikeeti ya senior eyomukaaga, wabula nga baakozesa satifikeeti ey’omutendera ogwo ekwewaandiisa eri akakiiko kebyokulonda.
Akakiiko kebyokulonda mu kiseera kino kaliko emisango egiwerako gyekalindiridde okuwa ensala yaagyo nga giva ku buyigirize bwabeesimbyeewo abatalina senior ya mukaaga.
Etteeka erifuga okulonda kw’ababaka ba parliament kusaawo obuyigirize bwa senior eyomukaaga eri abagala okuvuganya ku bifo byobubaka bwa parliament, wabula okuva okusunsula okwo bwekwakomekerezebwa, bannauganda bangi baddukidde eri akakiiko kebyokulonda nga bemulugunya ku biwandiiko byabo abeesimbawo mu bifo byobubaka bwa parliament ebyenjawulo.
Abamu ku beemulugunyizibwaako nti tebalina biwandiiko byessalira naddala senioir eyomukaaga, kuliko Sodo Aine Kaguta muto womukulembeze weggwanga eyeesimbyeewo ku kifo kya Mawogala North ku kaadi ya NRM, Hajji Ali Mulyanyama eyeesimbyeewo ku kaadi ya NUP ku kifo kya Makindye East,Brigadier Emanuel Rwashande munnaNRM eyeesimbyeewo ku kifo kya Lwemiyaga saako Mathias Mulumba Walukagga eyeesimbyeewo ku kifo kya Busiro EAST
Bano bonna abaabawaawaabira, babalumiriza nti tebalina buyigirize bwa ssalira obwa senior eyomukaaga nti ne certificate zebaakozesa ezimanyiddwanga certificate of equivalent, zirimu amatankane
Saulo Waigola omwogezi wakakiiko keggwanga akavunyizibwa ku matendekero agaawaggulu ka National Council for Higher Education agambye nti Certificate eno eriko obukwakulizo obugitambulirako, era eriko ekkomo.
Ebyo nga bikyaali awo, bannabyabufuzi abeesimbyeewo ku bifo byobubaka bwa Parliament okuva mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo, bakaaba olwebipande byaabwe okuyuzibwa
Hajji Kateregga Mohammed eyeesimbyeeewo ku kifo kyobubaka bwa palament owa Bukomannsimbi North awaliriziddwa okuwandiikira akakiiko kebyokulonda nga yemulugunya ku banne beeyesimbyeewo nabo abayuza abipande bye
Okuyuza ebipande kukyaase nnyo mu districts okuli Bukomansimbi, Mukono, Kampala nebitundu ebirala.#












