Ttiimu za Uganda ez’omupiira ogw’ebigere 3, olwaleero nga 18 November zonna zigenda kuyingira ekisaawe okuvuganya mu mpaka ezenjawulo ku mutendera gw’ensi yonna.
Wabula nga okwesunga ennyo kuli ku ttiimu yabazannyi abatasusa myaka 17 eya Uganda Cubs evuganya mu mpaka z’ensi eza FIFA U17 World Cup eziyindira e Doha Qatar.
Uganda Cubs egenda kwambalagana ne Burkina Faso ku ssaawa 9 n’ekitundu ez’olweggulo, nga omupiira guno gwa mutendera gwa ttiimu 16. Uganda singa eyita wano ejja kwesogga omutendera gwa quaterfinal.
Uganda Cubs empaka zino yazetabyemu omulundi gwayo ogusookedde ddala, nga okutuuka ku mutendera guno yawanduddemu Senegal ku goolo 1-0.
Mungeri yeemu ttiimu y’eggwanga enkulu eya Uganda Cranes nayo egenda kuyingira ekisaawe okuzannya ne Morocco mu mupiira ogw’omukwano ogugenda okuzanyibwa kussaawa 4 ez’ekiro, mu kisaawe kya Stade Tanger mu kibuga Rabat e Morocco.
Omupiira guno gwa mukwano, nga Uganda Cranes yasoose kuzannya ne Chad era Uganda newangula omupiira guno goolo 2-1.
Uganda Cranes yetegekera mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka guno 2025 ezigenda okubeera e Morocco, okuva nga 21 omwezi ogujja ogwa December, nga Uganda eri mu kibinja C ne Nigeria, Tunisia ne Tanzania.
Ate ttiimu y’eggwanga endala eyabazannyi abatasusa myaka 17 eya Uganda Cubs, nayo egenda kuyingira ekisaawe olwaleero okuzannya ne Sudan mu mpaka za Cecafa U17 Zonal Qualifiers eziyindira mu Ethiopia.
Omupiira guno gwa mutendera gw’ebibinja era gugenda kuzannyibwa ku ssaawa 11 ez’olweggulo, nga Uganda yagguddewo empaka zino n’okukuba Burundi goolo 4-0.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe












