Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF,
kikakasiza abazannyi 3 abasigadde mu lwokaano olw’okuvuganya ku ngule y’omuzannyi asinze okucanga endiba omwaka guno 2025.
Abazannyi bano ye Acraf Hakim owa club ya PSG eya Bufalansa era munnansi wa Morocco.
Omulala ye Muhammed Salah owa club ya Liverpool eya Bungereza era munnansi wa Misiri.
Ate ow’okusatu ye Victor Osimhen owa club ya Galatasaray eya Turkey era munnansi wa Nigeria.
Engule ey’omwaka 2024 yawangulwa munnansi wa Nigeria Ademola Lookman.
Mungeri yeemu amawanga 3 gegavuganya ku ngule y’eggwanga erisiinz3 okucanga endiba okuli Morocco, Cape Verde ne ttiimu ya Morocco eyabazannyi abatasusa myaka 20.
Club 3 nazo zivuganya kungule ya club esiinze okuli Mamerodi Sundowns eya South Africa omuzanyira munnayuganda omukwasi wa goolo Dennis Masinde Onyango, Pyramids eya Misiri ne RS Berkane eya Morocco, ewamu nengule endala nnyingi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












