Abatuuze ku kyalo Namulesa mu gombolola eyé Ngogwe district eyé Buikwe baguddemu ekikangabwa, mutuuze munnaabwe abadde yabula kumpi omwezi gumu emabega, kizuuliddwa nti abapakasi baabadde akozesa baamutta omulambo nebaguziika emmanju wámakaage.
Eyatemuddwa ye Sserwadda Joseph, kitegeerekese nti abadde alina obulemu ku mubiri, era mukyala we yanoba gyebuvuddeko, násigala awaka nábakozi be 3.
Abatuuze bagamba nti nnaku ntono eziyise aliko emiti gye yatunda okuva ku kibanja kye, nga kiteeberezebwa nti abakozi baamusse olwókwagala okumuggyako akasente ako.
Oluvannyuma lwákaseera ngábatuuze banoonya munnaabwe talabika, ensonga baazitutte mu bóbuyinza omuyiggo negukwajja, omu ku bakozi abo eyabadde adduse yakwatiddwa era nálonkoma banne.
Omu ku batuuze b’ekyalo ekyo, Kyakoonye Paddy agambye nti baziikudde ekinnya bano mwe baamuziika emmanju, kwe kugwa ku mulambo nga baagunzinga mu ki bulangiti.
Police okuva e Lugazi etuuse mu kifo ekyo abatemu nebakwatibwa, wabula etegeezezza nti ekyalinze ekiragiro kya kkooti okuziikulayo omulambo ogwo.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis ne Ddungu Davis











