Nnamutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu bye Sebei afiiriddemu abantu 9, kuliko abaana 3 ba mu nju emu.
Abantu 6 bakukyalo Ekyalo Tuikat mu district ye Kween, so ng’ate 3 bakukyalo Chesower mu district ye Bukwo.
Mu ngeri yeemu amataka gakuluggusizza ettaka erizibye oluguudo oluva e Kapchorwa okudda e Bukwo, era kitutte akaseera ng’abantu tebalina gyebayita.
Irene Nakasiita ayogerera Uganda Red Cross agambye nti abadduukirize ab’ekitongole kyabwe nga bayambibwako abantu abalala bakyagenda mu maaso n’okuyiikuula ebifunfugu by’ennyumba ezigudde, okuzuula oba nga tewali bantu bakyawagamidde wansi.











