Ttiimu y’essaza Buweekula ne Ssingo besozze fayinolo y’empaka z’AMasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Ssingo egudde maliri ne Bugerere 0-0 mu kisaawe e Mityana, kyokka Ssingo eyiseewo kuba oluzannya olwasooka yakuba Bugerere goolo 2-1 e Ntenjeru.
Buweekula ekubye Kyaggwe goolo 4-3 eza peneti mu kisaawe kya Bishops SS e Mukono oluvanyuma lwa ttiimu zino okulemagana goolo 1-1.
Buweekula ekubye Kyaggwe goolo 1-0, ate nga Kyaggwe nayo yawangula oluzannya olwasooka e Mubende goolo 1-0.
Kati Buweekula egenze ku fayinolo omulundi ogw’okusatu, nga yasooka mu 2012 ne 2021 kyokka yalemwa okuwangula ekikopo.
Ssingo ebadde yasemba okugenda ku fayinolo mu 2018, kyokka yakawangula empaka zino emirundi 2 mu 2015 ne 2018.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu, agambye nti bakoze nnyo okutuuka ku fayinolo era neyebaza Bannassingo olw’obuvugirizi, era asuubiza nti ekikopo bakukiwangula.
Fayinolo y’AMasaza egenda kubeerawo nga 01 omwezi ogujja ogwa November,2025 mu kisaawe e Nakivubo, era tickets za fayinolo zigenda kutekebwa ku katale ku monday nga 20 October, 2025 okuyita ku mutimbagano.
Ticket kuliko ey’emitwalo 30,000/=, emitwalo 50,000/= ne mitwalo 150,000/=.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












