Busuulwa Joseph abeera mu Kuwait eyeddira Ekkobe, asitukidde mu ky’Omuziira mu bazira w’e Ntanda Diaspora 2025 eyetabibwamu Bannauganda abali ebweru wa Uganda.
Mu luzannya olw’akamalirizo abadde mulwokaano nebanne abalala basatu, okuli Nsamba Julius eyeddira Engabi nga Ali UAE, Matovu Gerald eyeddira Engabi naye ali United Arab Emirates ne Mubiru Kayanga Eyeddira Emamba Namakaka ali Qatar.
Omwami wa Kabaka atwala Essaza lya Bungereza ne Ireland Owek Ssaalongo Geoffrey Kibuuka, yebazizza nnyo Obwakabaka ne Cbs fm, nabo nga abantu ba Kabaka abali ebunayiira okuwebwa omukisa okwetaba mu Ntanda Diaspora.
Ssali Damascus omu ku bateesiteesi ba program Entanda Diaspora Agamba nti musanyufu kubanga ebirubirirwa ebyabatandikisawo Entanda Eno biviriddeeyo ddala bulungi, naddala eky’okukuumira abantu ba Kabaka nga bagoberera ebifa mu Bwakabaka, okukuuma ennono n’okusigala nga bogera bulungi olulimi lwabwe oluganda.
Bisakiddwa: Musisi John









