Abalimi mu district y’e Bukomansimbi bawanjagide government obutaggyawo nteekateeka yaayo eya micro scale irrigation ey’okuyambako abalimi okufukirira ebirime byabwe, mu kifo ky’okulinda enkuba.
Omulimi Mzee Kitayimbwa Vicente owe Mitijeera mu Kagologolo town Council, yoomu ku baganyuddwa mu nteekateeka eno, era ng’alambuzza abakungu ba district ye Bukomansimbi yiika z’emmwanyi ezisoba 50 zaafukirira.
Omulimi Ssenkungu Dennis Kironde owe Kayanja mu gombolola ye Kitanda naye alambuzza abaungu ba district yiika z’emmwanyi ezisoba 30 naye zaafukirira,ng’ayita mu nkola ya micro scale irrigation.
Bagamba nti enkola eno ebayambye nnyo, era nebaaba government obugyiggyawo nga bwebazze babiwulira.

Ssentebe wa district Fred Nyenje Kayiira, RDC Lukubo Charles Kyasanku, CAO Marley Ben Lawrence, akulira ebyokufukirira e Bukomansimbi Engineer Mubarak Kawere nabalala babade basanyufu kulwa government,bwebasanze nga abalimi balina kyebeyongedeko olw’enkola eyo government gyeyabawa.
RDC Lukubo Charles Kyasanku ne ssentebe wa district Fred Nyenje Kayiira, bagumizza abalimi nti bakuwanjagira government entekateeka eyo esigalewo kuba ebadde erina webatuusizza naddala ku ky’amakungula amalungi, era ag’omujjirano.
District ye Bukomansimbi yeemu ku district government mweyagesereza enkola ey’omuntu sekinoomu okuyambibwako ng’afukirira ennimiroze, era enkola eyo eyambye abalimi bangi okulima ne mu kiseera ky’omusana.
Wabula waliwo ebigaambibwa nti enkola eno government yajifundikide nejisikiza enkola endala ey’abalimi abawerako okwegatta nebayambira wamu kitole okufukirira ennimiro zabwe okuva ku nkola ya sekinoomu.
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubaraka Junior












