Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba kw’omubaka wa Makindye West mu parliament Allan Ssewanyana, kweyali yateekayo nga aliko ensonga ezenjawulo zaawakanya mu bimuvunanyibwa okuba naakakwate ku bijambiya ebyali mu bendobendo lye Greater Masaka.
Mu mwaka gwa 2021 wakati w’omwezi gw’okusatu n’ogw’omukaaga, abantu mu bendobendo lye Masaka battibwa mu bukambwe, ng’abatemu bakozesa bijambiya.
Wabula ababaka babiri okuli Omugenzi Muhammad Ssegirinya, eyali owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West okunoonyereza kwa government kwabalumika nti baalina akakwate ku bijambiya, wabula baabyegaana.
Ssewanyana n’omugenzi Mohammed Segirinya baasibwa mu ennaku ezisukka mu 500 ku misango gy’ebijambiya e Masaka ne Lwengo abantu abasukka 30 gyebalusuuliramu akaba, ng’era emisango gino gikyali mu kkooti enkulu ewozesa ba kalintalo.
Mu kiseera kino Omugenzi Ssegirinya yaggyibwa ku musango guno, olwokuba yafa nejisigala ku Allan Ssewanyanya.
Ssewannyana ng’ayita mu munnamateeka we, omuloodi Erias Lukwago, yeekubira enduulu mu kkooti ya ssemateeka ng’ayagala eyise ekiragiro ku fayilo y’emisango okuli egye Lwengo ne Masaka ejimuvunaanibwa egyebijambiya zigattibwe kubanga zoogera ku musango gw’egumu.
Ssewanyana era yasaba kkooti ya Ssemateeka okulagira kkooti enkulu ewozesa ba kalintalo okuwa bannamateeka be kalonda yenna akwata ku bajulizi 15 oludda oluwaabi berwali lusabye okukweka.
Wabula abalamuzi ba kkooti ya ssemateeka 5 abakulemberwamu Ketra Katunguka bagobye okusaba kwa Ssewanyana nga bagamba nti mu nsonga zeyasaba tebalabamu kyetaagisa kutaputibwa era azizeeyo mu kkooti enkulu y’eba eziwulira.
Kyokka oluvanyuma lw’ensala ya kooti eno, munnamateeka omuloodi Erias Lukwago, agambye nti bagenda kujulira mu kkooti ensukkulumu.
Omubaka Allan Ssewanyana era nga yammiddwane kaadi y’ekibiina kya NuP, okudamu okuvuganya ku kifo kye, asinzidde wano neyenyamira olw’ekibiinakye ekya NUP okwesamba emisango nokujiraba nga katemba, kyokka ng’ensonga zebamuvunaanira zeekuusa ku kibiina kye.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












