Police mu Kampala ne mirirano eriiko omusajja gwekutte nga yeyita omudduumizi wa police ya Jinja road mu Kampala, era nti ababadde akozesa ekifo ekyo okuggya ku bantu ensiimbi .
Omukwate ye Elangu Aride Pius, akuumibwa ku police e Kawempe.
Akwatiddwa n’omusirikale ali ku ddaala lya SP Opio Patrick.
Kigambibwa nti ono abadde akozesa namba ya ssimu 0762834001, naakubira abantu nga bwabatiisatiisa nti ye DPC ayagala okubasisinkana olwo nafundikira nga abanyazeeko ssente.
Okusinziira ku police, omukulu ono abadde yeyita amannya agaweerako agabakulira ebitongole.
Oluusi abadde yeyita senkulu wa CHINT Vincent Wei, olussi nga yeyita senkulu wa Nashemeza Lorren of Lakhan Auto Centre Kakonge David n’abalala abakulira ebitongole ebyenjawulo.
Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti Elangu Aride Pius abadde abalondoola naamanya abantu abalina emisango ku police ezenjawulo nabakubira essimu, era naabasuubiza nti asobola okubayamba okuggyawo emisango gyebigwera ng’abanyazeeko ensimbi zabwe eziweerako.
Patrick Onyango agambye nti bakumutwala mu kooti esaawa yonna, nasaba abantu abaali banyagiddwako omusajja ono okugenda eri police baweeyo ensonga zabwe.#












