Abesimbyewo okuvuganya ku ntebe y’obwapresident mu kalulu ka 2026 bakaanyizza ku nteekateeka gyebagenda okutambuzaamu kakuyege wabwe, nabuli kifo buli omu gyalina okubeera.
Abakiise babeesimbyewo 8 babadde mu nsisinkano nabakulu mu kakiiko kebyokulonda okukaanya ku nteekateeka eno.
Okusinziira ku bikaanyiziddwako, nga 29 September,2025 kampeyini ezo lweziggulibwawo mu butongole, Gen. Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa wakubeera Munyonyo, mu division ya Makindye mu Kibuga Kampala.
Mwaami Museveni kulwokubiri wakwolekera Luweero.
Munnakibiina ki National Unity platform Robert Kyagulanyi Ssentamu wakusookera mu Kibuga Jinja bwanaava eyo ayolekere Kamuli ne Buyende
General Mugisha muntu owa Alliance for National transformation ne Eiton Joseph Mabiriza owa Conservative party bbo ku lunaku olusooka tebalina gyebalaga, songa Robert Kasibante owa National peasants party wakubeera Mityana ne Kasanda
Gen Mugisha muntu kakuyege we wakumutandiikira Kawempe mu Kampala nga 30 September,2025.
Hajji Mubarak Munyagwa owa Common Mans Party kakuyege we wakumutandiikira Kawempe mu Kibuga Kampala songa munnaFDC Nathan Nandala Mafabi wakubeera mu district ye Buikwe nabalala.
Olunnaku olwenkya okusinziira ku Julius Muchunguzi omwezi wakakiiko kebyolonda abeesimbyeewo oba ba agents baabwe bagenda kussa emikono ku ndagaano ekakasa byebakaanyizibwa n’okweyama nti bagenda kubiteeka mu nkola.
Abantu 8 bebasunsuddwa akakiiko akakiiko kebyolonda okuvuganya ku ntebbe yobwa president mu kalulu akabindabinda.#












