Akakiiko kebyokulonda katandiise ku nteekateeka ey’okusiiga n’okukubisa akakonge k’akalulu k’obwa president aka 2026 nga bwekanaafaanana, oluvannyuma lw’okufuna abantu abagenda okukalabikirako.
Abaasunsuddwa era abagenda okubeera ku kakonge ka president bali 8, okuli munnaNRM Yoweri museveni Kaguta ,munnaFDC Nathan Nandala Mafabi ,munnaNUP Robert Kyagulanyi Ssentamu munnaANT Gregory Mugisha muntu, munnaCommon man’s party Mubarak Munyagwa, owa Conservative Party Elton Joseph Mabiriizi, owa Revolutionary People’s Party Bulira Frank Kabinga ne Kasibante Robert owa National Peasants Party.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti oluvannyuma lw’okufuna abantu abaatuukirizza ebisaanyizo, ekiddako be bakozi b’akakiiko k’ebyokulonda okusiiga ekifaananyi ky’akakonge, bakiwe kampuni egenda okukuba obukonge obwo mu kyapa.
Julius Muchunguzi agambye nti enteekateeka egenda mu maaso yeyokwekennenya n’okusunsula kampuni enaakuba obukonge.
Mu ngeri yeemu The Electoral Commission of Uganda, egenda kusisinkana abakiise oba ba agents b’abantu abasunsuddwa ku ntebbe yobwa president, okukaanya ku kampeyini zabwe bwezigenda okutambula okwetoloola eggwanga, nga zitandika 29 September,2025.#












