Eyaliko nakinku mu kucanga endiba mu mpaka za Masaza ga Buganda omuteebi Charles Bbaale, yegasse ku club ya Police FC mu kwongera okuggumiza ttiimu eno okwetegekera season ejja eya Uganda Premier League.
Charles Bbaale okugenda ku club ya Police FC, yesembyeyo kuzannyira club ya Gor Mahia eya Kenya ebbanga lya myezi 5 gyokka naagyaabulira.
Okugenda mu club ya Gor Mahia yava mu club ya Rayon Sport eya Rwanda, gyeyali yegattako ng’ava mu club ya Villa Jogo Ssalongo eya Uganda Premier League.
Charles Bbaale ettutumu yalifunira mu mpaka za Masaza ga Buganda, nga ye muteebi eyasinga okuteeba goolo ennyingi mu 2020 bwe yali ayambako Gomba okuwangula ekikopo.
Uganda Premier League 2025/26, egenda kutandika nga 26 omwezi guno ogw’omwenda era Police ejja kuggulawo n’okukyaza club ya Mbarara City ku kisaawe kya Kira Road Police Arena e Kamwokya.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












