Obwakabaka bwa Buganda bukangudde ku ddoboozi eri abo bonna abagenderera okuttattana empaka za Masaza ga Buganda, etandikidde ku bazannyi 11 aba ttiimu y’essaza Butambala bawereddwa ebbanga lya myaka 2 nga tebetaba mu mpaka zino.
Abazannyi bano balangibwa kwegugunga ne bagaana okudda mu kisaawe bwe baali battunka ne Ssingo e Mityana nga 24 August,2025, era omupiira guno tegwaggwa.
Omupiira guno gwayiika nga Butambala ewakanya goolo eyekyenkanyi eya Ssingo, gye baali balumiriza nti yateebwa mu kisaawe mulimu omupiira ogusukka mu gumu.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone mu Bwakabaka Owek Ssalongo Robert Sserwanga ekinogaanyizza nti kino kiri ku bazannyi bokka 11 abaali mu kisaawe nga basamba, abaali ku katebe tebawereddwa.
Obwakabaka era buweze abadde ssentebe wa ttiimu y’essaza Butambala Hajji Adam Ggolooba Ntale obutaddayo kwetaba mu mpaka zino olw’ekikolwa kye yakola okugaana abazannyi okudda mu kisaawe.
Sulait Makumbi abadde akulira eby’ekikugu ku lukiiko lwa ttiimu ya Butambala ayimiriziddwa ebbanga lya myaka 3 okuva 2026, ate nga abadde omutendesi wa Butambala Paul Kiwanuka ayimiriziddwa omwaka gumu 2026.
Omwaka guno 2025 Butambala yawandukidde ku mutendera gw’ebibinja.#












