Omwoleso gwa cbs Pewosa ogutegekeddwa e Masaka gutandise nga 10 September, gukomekkerezebwa ku monday nga 15 September,2025, guli ku ssaza e Masaka.
Gwatabwamu abamakorero amanene n’amatono, abagatta omutindo ku byebakola, ebitongole bya government, eby’obulimi n’abakola emirimu egyenjawulo bangi.

Wakabi Jacob akulira ekitongole kya NIRA mu bendobendo lye Masaka ategezeeza nti nga basinziira mu mwoleso batandise okukola ku bantu abalina ensonga ez’enjawulo ezikwata ku ndagamuntu.
Mu mwoleeso wategekeddwaawo emisomo omuli ogw’okweggya mu bwavu enkya ku Thursday nga 11, ate ku friday nga 12 wakubeerawo Ttabamiruka akwata ku mmwaanyi , olwo kulwomukaaga nga 13 bana Peweso bakuvuganya mu mizannyo egyenjawulo nebirala.#












