Omuwabuzi wa President owokuntikko ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Ambassador Abbey Walusimbi alangiridde nti enteekateeka President gyeyabalagidde okukola ey’okuwandiisa bannauganda bonna abawangalira ebweru, nti etandika essawa yonna, era yakukolebwa okuyita ku bitebe bya Uganda ebisangibwa mu mawanga agatali gamu.
Wiiki ewedde President Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde asisinkanye banna NRM abawangalira ebweru wa Uganda, mu nsisinkano eyabadde mu maka gwobwa President e Nakasero, yalagidde Ambassador Walusimbi ne Maj. Rt. Awich Pollar atwala ensonga za bannaNRM abali ebweru okuwandiisa bannauganda bonna nga tebasosodde, government emanye omuwendo gwabwe esobole okubateekeerateekera obulungi.

Ambassador Walusimbi mukwogerako ne CBS agambye nti enteekateeka zitandise okukolebwa, era mu bbanga ttono bagenda kwolekera amawanga agalimu bannauganda batandike okubawandiisa, wabula nga bakukikolera ku bitebe bya Uganda (embassy) kwekusaba bannauganda bonna okujjumbira enteekateeka eno .
Agambye nti mu kuwandiisa kuno bagenda kwetaaga Passport n’Endagamuntu okuva mu bannauganda, era basabiddwa okubiteekateeka basobole okwanguya omulimu guno.
Mu ngeri yeemu Ambassador Walusimbi agambye nti enteekateeka eno tegenda kubeeramu byabufuzi byonna, wabula ekigendererwa kyakumanya omuwendo gwa bannauganda abawangalira mu mawanga g’ebweru, okusobola okubategekera mu program government zekola naddala ezikulaakulanya abantu.












