Banna Uganda naddala abateekateeka okuyingira obufumbo basaanye okusooka okwekebezanga endwadde ya Nnalubiri nga tebanafumbiriganwa, okukendeeza ku muwendo gw’abaana abazaalibwa nr Nnalubiri oba sicklecell.
Ministry yeebyobulamu egamba nti ssinga kizuulibwa nti abagenda okufumbiriganwa balina obutafaali obulimu obulwadde bwa nnalubiri, tebasaanidde kufumbirigana, kuba kyakubakosa mu baana bebanaazaala.
Abaana emitwalo 2 bebazaalibwa n’obulwadde bwa nnalubiri buli mwaka mu Uganda,nga kino kisinze kuva ku bantu butasooka kwekebeza nga tebanaba kufumbirigana.
Bwabadde mu lukungaana naabamu ku bantu abawangaala noobulwadde bwa Nalubiri mu ddwaliro e Nsambya ku Nsambya Training School, Dr. Gerald Mutungi, kaminsona avunanyizibwa ku ndwadde ezitasiigibwa mu ministry yeebyobulamu, agambye nti waadde kaweefube n’okunoonyereza ku ndwadde eno, eddagala erisiinga kwekugyewala ng’abaagalana bekebeza, nga tebanatandika kuzaala baana.
Agambye nti government etaddewo enkola ezitali zimu n’okukuba ensisira ezenjawulo okwekebeza kko n’okukwatagana n’obukulembeze obw’ennono okubangula abantu ku kirwadde kino.
Dr Mutungi agambye nti obuzibu ku kirwadde kino businga mu district ye Alebtong ne Bundibugyo.
Dr. Andrew Ssekitoleko, akulira eddwaliro lye Nsambya agambye nti bafuba okujjanjaba abntu abawangaala ne Sickle Cell, kyokka nti obwetaavu bukyali bungi ddala,era naasaba abasobola okwongera okubakwasizaako.
Emmanuel Majaala, wa myaka 60 era awangaala nekirwadde kya nnalubiri, awanjagidde government eyongere ku bujjanjabi obw’ekikugu mu obw’okusimbuliza obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri ( bone marrow transplant) nga bweguli mu mawanga g’abazungu.
Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ki World Health Organisation, abantu obukadde obusoba mu 7 n’emitwalo 70 balina obulwadde bwa sicklecell.
Omwezi guno ogwa September, gwalambikibwa WHO okusomesa abantu okwewala okusaasaanya Nnalubiri.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












