Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago asunsuddwa wakaati mu bunkenke obw’amaanyi Ku kitebe ky’akakiiko keby`okulonda aka Kampala e Ntinda.
Erias Lukwago asunsuddwa okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku kifo kya Lord Mayor wa Kampala, essaawa zibadde musanvu ez’emisana.
Lukwago yakamala ku kifo kino emyaka 15.
Wabaddewo ddukadduka ab’ebyokwerinda bwebakubye omukka ogubalagal mu bawagizibe ababadde bamuwerekera okugenda okusunsulwa.
Lukwago Olumaze okusunsulwa naawera, nti siwaakusuula ngabo ku lutalo lw’okulwanyisa abamafiya abeesomye okuwamba ekibuga Kampala.#












