Obwakabaka bwa Buganda buyozaayozezza nnyo Kyabazinga Isebantu William Wilberforce Nadiope IV ne Inebantu Jovia Mutesi olw’okufuna ezzadde ly’Abalangira Abalongo.
Bweza!
Eyakulemberamu okutegeka emikolo gy’embaga yabwe Eng.Patrick Batumbya yalangiridde amawulire g’ezzadde ly’abalongo, mu lubiri lwa Kyabazinga e Budhumbuli mu district ye Kamuli.
Omulangira Ethan Nadiope n’Omulangira Arnold Nadiope baazaaliddwa nga 27 August, 2025.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu Bulange e Mengo, naayozayoza Obwakyabazinga olw’abalangira abazaaliddwa.
“Ku lwange, ku lwa government ya Ssaabasajja Kabaka n’Abantu ba Buganda bonna njozaayoza Isebantu ne Inebantu era twaniriza Abalangira ababiri. Tubaagaliza obulamu obulungi na bazadde baabwe” – Katikkiro Mayiga
Mu ngeri yeemu Katikkiro ayozayozezza abantu ba Busoga ne Bannauganda bonna olw’ekkula, naawanjagira Katonda era ayongere okubateekako amaaso.#












