Bannabyamizannyo abenjawulo bewangulidde ebirabo,ku fayinolo wa Bbingwa 2025, ayindira mu kisaawe kya Kasana Nyendo Masaka.
Mujabi Abdul ye Bbingwa w’ebyemuzannyo owa 2025.

Ebibiinja ebyenjawulo bisaambye omupiira ogw’omukwano, ogulimu n’okuwangula ebirabo.

Abawagizi ba Man-U bawangudde abawagizi ba Arsenal mu mupiira gwa Bbingwa w’ebyemizannyo, ogunyumidde mu kisaawe e Kasana mu Nyendo, ku ggoolo 3-2.
Goolo zibadde zakusimulagana ppeneti oluvannyuma lw’okukomekerezebwa 1-1 mu ddakiika e90.

Mu mupiira omulala abavuzi ba Bodabooda bawangudde bamakanika, ku ggoolo 2-1.
Abavajjirizi aba MTN Uganda bawadde abawanguzi aba bodaboda akakadde ka shs kalamba.

Omupiira wakati w’abaweereza ba CBS n’Abasosolodooti b’e Masaka, guwanguddwa abasasolodooti mu kusimulagana peneti 1 -0. Eddaakiika 90 ziweddeko nga tewali alengedde katimba ka munne.


Omupiira gw’abaweereza ba CBS n’abasuunuzi b’e Masaka guwanguddwa aba CBS, ku ggoolo 2 – 0.
Olunaku lwonna lusiibye lwabbugumu.m omupiira oluwedde olwo empaka z’okulonda omuwanguzi wa Bbingwa 2025 nezitojjera, ziwanguddwa Mujabi Abudul.
Oluwedde endongo neetandika okusindogoma, nga yetabiddwamu abayimbi abenjawulo abasanyusizza abantu. #











