Ministry y’ebyenjigiriza n’ekitongole ky’ebibalo mu ggwanga ekya UBOS batandise okuwandiisa abayizi bonna abali mu masomero mu ggwanga.
Minister omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebisookerwako mu ggwanga Joyce Moriku Kaducu, asinzidde ku media Centre mu Kampala, nategeeza nti kawefube Ono atandikidde mu district satu ezikola Greater Kampala, okuli Kampala, Wakiso ne Mukono.
Minister agambye nti bagala omwezi gwa June wegunaggwerako nga bamalirizza okuwandiisa abayizi bonna mu ggwanga.
Obuwumbi bwa shs 27 government bwewaddeyo okukola ku ntegeka eno, nga bakuva ssomero ku ssomero nga bawandiisa.
Vincent Ssozi omumyuka wa Commissioner avunaanyizibwa Ku bibalo n`obwa kalondoozi mu ministry yebyenjigiriza nebyemizanyo mu ggwanga, ategeezezza nti entegeka eno yakubayamba okumanya obungi bw’abayizi n’amasomero agali mu ggwanga, n’okwogerezeganya obutereevu n’abayizi, embeera mwebasomera, ebibanyigiriza, embeera y’amasomero mwegali, ekinabasobozesa okwongera okuteekateeka n`okutereeza ebyenjigiriza mu ggwanga.
Bagenda kubala abayizi okuviira ddala Ku mutendeka ogusookerwako okutuuka Ku matendekero agwawaggulu, era amasomero gasabiddwa okuwa ekyanya ttiimu ezigenda okusindikibwa ku masomero gabwe okukola omulimu oguzituteyo.
Bisakiddwa: Musisi John